Isaiah 28:7-8


7 aNe bano nabo batagala olw’omwenge,
era bawabye olw’ekitamiiza;
Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza,
era bawabye olw’omwenge;
bawabye olw’ekitamiiza,
batagala ne bava mu kwolesebwa,
era tebasalawo nsonga.
8 bWeewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye,
tewakyali kifo kiyonjo.
Copyright information for LugEEEE